Revelation 9:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga ligamba malayika owoomukaga eyali alina ekkondeere nti: “Sumulula bamalayika abana abaasibibwa ku mugga omunene Ewufuraati.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga ligamba malayika oyo ow’omukaaga nti, “Sumulula bamalayika abana abaasibirwa ku mugga omunene Fulaati.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ng'aligamba malayika ow'omukaaga eyalina akagombe nti, “Sumulula bamalayika abana abasibirwa ku mugga omunene Fulaati.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eddoboozi eryo ne ligamba malayika ow'omukaaga, eyalina eŋŋombe nti: “Sumulula bamalayika abana abasibiddwa ku mugga omunene Ewufuraate.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ng'agamba malayika ow'omukaaga eyalina akagombe nti Sumulula bamalayika abana abasibiddwa ku mugga omunene Fulaati.