Revelation 9:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo Bamalayika abana ne basumululwa, abaali awo nga bategekeddwa essaawa yonna, olunaku lwonna, omwezi gwonna, omwaka gwonna okutta ekitundu ekyokusatu eky'abantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bamalayika abana abaali basibiddwa nga balindirira omwaka n’omwezi ogwo, n’olunaku olwo, n’essaawa eyo, ne basumululwa okutta ekitundu ekimu ekyokusatu eky’abantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bamalayika abana ne basumululwa abaali bateegekeddwa essaawa n'olunaku n'omwezi n'omwaka, okutta ekitundu eky'okusatu eky'abantu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo bamalayika abana ne basumululwa. Baali nga baategekerwa dda essaawa eyo, n'olunaku n'omwezi n'omwaka, okutta ekitundu ekimu ekyokusatu eky'abantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bamalayika abana ne basumululwa abaali bategekeddwa essaawa n'olunaku n'omwezi n'omwaka, okutta ekitundu eky'okusatu eky'abantu.