Revelation 9:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Embalaasi bw'enti bwe naziraba mu kulabikirwa kwange: abeebagazi baalina ebizibawo eby'okukifuba ebimyufu ng'omuliro, ebya bululu omukwafu, n'ebya kyenvuyenvu ng'ebibiriiti; emitwe gy'embalaasi nga giri ng'egy'empologoma; mu kamwa kaazo nga mufubutukamu omuliro n'omukka n'ebibiriiti.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne ndaba mu kwolesebwa, ng’embalaasi n’abaali bazeebagadde nga bambadde eby’omu bifuba ebimyufu, era mwalimu n’abambadde ebya bbululu n’ebya kyenvu. Emitwe gy’embalaasi gyali gifaanana ng’egy’empologoma, ne mu bumwa bwazo ne muvaamu omuliro n’omukka ne salufa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bwe nti bwe nnalaba embalaasi mu kwolesebwa kuno, n'abo abaali bazituddeko, nga bambadde eby'omu kifuba ng'eby'omuliro n'ebya kazigizigi n'eby'ekibiriiti: n'emitwe egy'embalaasi gyali gifaanana ng'emitwe gy'empologoma, ne mu bumwa bwazo ne muva omuliro n'omukka n'ekibiriiti.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era mu kulabikirwa kuno, ne ndaba embalaasi n'abazeebagadde, nga bambadde mu bifuba ebintu ebyengeredde ng'omuliro, ebya bbululu, n'ebya kyenvu. Emitwe gy'embalaasi ezo gyali ng'egy'empologoma, mu kamwa kaazo nga muvaamu omuliro, n'omukka, n'ensasi z'omuliro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bwe nnalaba bwe nti embalaasi mu kwolesebwa kuno, n'abo abaali bazituddeko, nga bambadde eby'omu kifuba ng'eby'omuliro n'ebya kazigizigi n'eby'ekibiriiti: n'emitwe egy'embalaasi ng'emitwe gy'empologoma; ne mu bumwa bwazo ne muva omuliro n'omukka n'ekibiriiti.