Revelation 9:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti obuyinza bw'embalaasi ezo bwalinga mu kamwa kaazo ne mu mikira gyazo; emikira gyazo nga gifaanana ng'emisota, nga kuliko n'emitwe; gino gye gyeyambanga okulumya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amaanyi gaazo ag’okutta tegaali mu bumwa bwazo mwokka, naye gaali ne mu mikira gyazo, kubanga emikira egyo gyali ng’emitwe gy’emisota, nga gye zibojjesa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga obuyinza bw'embalaasi ezo bwali mu kamwa kaazo, ne mu mikira gyazo, kubanga emikira gyazo gyali gifaanana ng'emitwe gy'emisota, era nga gye zirumisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga obuyinza bw'embalaasi ezo bwali mu kamwa kaazo ne mu mikira gyazo. Emikira gyazo gyali ng'emisota egirina emitwe, era emitwe egyo nga gye zirumisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga obuyinza bw'embalaasi buli mu kamwa kaazo, ne mu mikira gyazo: kubanga emikira gyazo gifaanana ng'emisota, nga girina emitwe; era gye zirumisa.