Revelation 9:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'aggulawo obuya bw'ennyanga, omukka ne guva mu buya kyenkana ng'ogw'omu kabiga akanene; enjuba n'empewo ne biddugala olw'omukka ogwava mu buya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe yabusumulula, omukka ne gufubutuka okuvaamu ng’oguva mu kikoomi ekinene ennyo, era enjuba ne bbanga lyonna ne bibuna ekizikiza olw’omukka ogw’omu bunnya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'asumulula obunnya obutakoma; n'omukka ne guva mu bunnya ne gulinnya ng'omukka gw'enkoomi ennene, n'enjuba n'ebbanga ne bibuna enzikiza olw'omukka ogwava mu bunnya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emmunyeenye eyo n'eggulawo obunnya obutakoma. Mu bunnya obwo ne muvaamu omukka ng'oguva mu nkoomi ennene, enjuba n'ebbanga ne bikwata ekizikiza olw'omukka ogwo ogwava mu bunnya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'asumulula obunnya obutakoma; n'omukka ne guva mu bunnya ne gulinnya ng'omukka gw'enkoomi ennene, n'enjuba n'ebbanga ne bizikizibwa olw'omukka ogw'omu bunnya.