Revelation 9:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abantu abalala bonna abatattibwa bibonoobono bino, baagaana okwenenya ebikolwa by'emikono gyabwe, wadde okulekayo okusinza emyoyo emibi, n'ebifaananyi bya balubaale ebya zaabu, n'ebya ffeeza, n'eby'ekikomo, n'eby'amayinja, n'eby'emiti, ebitayinza kulaba oba okuwulira oba okutambula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye era abantu abaasigalawo nga balamu oluvannyuma lw’ebibonoobono bino ne bagaana okwenenya ebikolwa byabwe. Ne batalekaayo kusinza baddayimooni n’ebifaananyi ebyakolebwa n’emikono ebya zaabu n’ebya ffeeza, n’eby’ebikomo, n’eby’amayinja n’omuti, ebitalaba yadde okuwulira so n’okutambula tebitambula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'abantu abaasigalawo, abatattibwa mu bibonyoobonyo ebyo, tebeenenya mu bikolwa by'emikono gyabwe, obutasinza balubaale, n'ebifaananyi ebya zaabu n'ebya ffeeza n'eby'ebikomo n'eby'amayinja n'eby'emiti, ebitayinza kulaba newakubadde okuwulira, newakubadde okutambula,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu abalala abaasigalawo, abatattibwa mu bibonyoobonyo bino, tebeenenya ebyo bye baakolanga, era tebaalekayo kusinza emyoyo emibi n'ebifaananyi ebya zaabu, n'ebya ffeeza, n'eby'ekikomo, n'eby'amayinja, n'eby'emiti, ebitayinza kulaba, oba okuwulira, wadde okutambula.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'abantu abaasigalawo, abatattibwa mu bibonyoobonyo ebyo, tebeenenya mu bikolwa by'emikono gyabwe, obutasinza balubaale, n'ebifaananyi ebya zaabu n'ebya ffeeza n'eby'ebikomo n'eby'amayinja n'eby'emiti, ebitayinza kulaba newakubadde okuwulira, newakubadde okutambula: