Revelation 9:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mukka omwo ne mufubutukamu enzige, ne zigwa ku nsi, ne ziweebwa obuyinza okwenkana obuyinza bw'enjaba ez'oku nsi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enzige ne ziva mu mukka ne zikka ku nsi ne ziweebwa obuyinza okuluma ng’enjaba ez’obusagwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne mu mukka ne muvaamu enzige okujja ku nsi, ne ziweebwa obuyinza, ng'enjaba ez'obusagwa ez'omu nsi bwe zirina obuyinza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu mukka ogwo ne muvaamu enzige, ne zijja ku nsi, era ne ziweebwa obuyinza, ng'obwo obw'enjaba ez'obusagwa ez'oku nsi ze bulina.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne mu mukka ne muva enzige ku nsi, ne ziweebwa obuyinza, ng'enjaba ez'obusagwa ez'omu nsi bwe zirina obuyinza.