Revelation 9:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne ziragirwa obutakola kabi ku muddo ogw'omu nsi yadde ku buli kimera kyonna ne ku buli muti, wabula ku bantu bokka abatalina kabonero ka Katonda mu kyenyi kyabwe;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Zaagambibwa obutakola ku muddo kabi konna, newaakubadde ebimera, wadde emiti; wabula zirumbe abantu abo abataalina kabonero ka Katonda mu byenyi byabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne zigambibwa obutayonoona muddo gwa nsi, newakubadde ekintu kyonna ekibisi newakubadde omuti gwonna, wabula abantu bokka abataliiko nvumbo ya Katonda ku byenyi byabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Enzige ezo ne zigaanibwa okwonoona omuddo, oba emiti, wadde ebimera ebirala, wabula okubonyaabonya abantu abo bokka abatalina kabonero ka Katonda mu byenyi byabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne zigambibwa obutayonoona muddo gwa nsi, newakubadde ekintu kyonna ekibisi newakubadde omuti gwonna, wabula abantu bokka abatalina kabonero ka Katonda ku byenyi byabwe.