Revelation 9:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne zigaanibwa okubatta, wabula ne ziweebwa okubabonyaabonya okumala emyezi etaano; mu kubonyaabonya nga zirumya ng'enjaba bw'ekola ng'erumye omuntu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tezaagambibwa kubatta wabula okubabonyaabonya okumala emyezi etaano nga zibaluma bulumi, ng’obulumi bwazo buli ng’obuva mu kubojjebwa enjaba ez’obusagwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne ziweebwa obutabatta, wabula okubalumira emyezi etaano, n'okuluma kwazo kwali ng'okuluma kw'enjaba ey'obusagwa bw'eruma omuntu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka ne zitakkirizibwa kubatta, wabula okubabonyaabonyeza emyezi etaano. Obulumi omuntu bw'awulira nga zimulumye, nga buli ng'obw'oyo alumiddwa enjaba ey'obusagwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne ziweebwa obutabatta, wabula okubalumira emyezi etaano: n'okuluma kwazo kwali ng'okuluma kw'enjaba ey'obusagwa bw'eruma omuntu.