Revelation 9:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Enzige ezo zaafaanananga ng'embalaasi ezitaze okulwana; ku mitwe gyazo nga zirina ekiri ng'engule eza zaabu, ate obwenyi bwazo nga bufaanana ng'obwenyi bw'abantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enzige zino zaali zifaanana ng’embalaasi ezitegekeddwa okugenda ku lutalo okulwana, ne ku mitwe gyazo nga kuli ng’okutikkiddwa engule za zaabu ate ebyenyi byazo nga biri ng’eby’abantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Enzige zino mu ndabika zaali zifaanana ng'embalaasi ezitegekeddwa olutalo, ne ku mitwe gyazo nga kuli ng'okutikkiddwa engule eza zaabu, n'ebyenyi byazo nga biri ng'eby'abantu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu ndabika, enzige ezo zaali zifaanana ng'embalaasi ezitegekeddwa olw'olutalo. Ku mitwe gyazo nga kuliko ebifaanana ng'engule eza zaabu, n'amaaso gaazo nga gafaanana ng'ag'abantu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ebifaananyi by'enzige byafaanana ng'embalaasi ezitegekeddwa olutalo, ne ku mitwe gyazo ng'engule ezifaanana nga zaabu, n'amaaso gaazo ng'amaaso g'abantu.