Romans 1:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abooluganda, njagala mumanye ng'emirundi mingi nategeka okujja ewammwe, nga njagala mbeeko ebibala bye nkungula mu mmwe nga bwe nabikungula mu b'amawanga abalala, naye n'okutuusa kati nkyalemeseddwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wabula njagala mumanye kino, abooluganda nti, Emirundi mingi nateekateeka okujja gye muli naye ne nziyizibwa okutuusa kaakano, ndyoke nkungule ebibala mu mmwe, nga bwe kiri mu mawanga amalala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era, ab'oluganda, njagala mumanye ng'emirundi mingi nalowoozanga okujja gye muli, naye ne nziyizibwa okutuusa kaakano, ndyoke mbeereko n'ebibibala by'enfuna mu mmwe, era nga ne mu b'amawanga amalala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abooluganda, njagala mumanye nti emirundi mingi nayagala okujja gye muli, nkole omulimu ogw'omugaso ne mu mmwe, nga bwe ngukola mu b'amawanga amalala. Naye n'okutuusa kaakano nkyalemeseddwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era, ab'oluganda, saagala muleme kumanya ng'emirundi mingi nalowoozanga okujja gye muli (ne nziyizibwanga okutuusa kaakano), era ndyoke mbeereko n'ebibala mu mmwe, era nga mu mawanga amalala.