Romans 1:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ddala nze Evangili tenkwasa nsonyi, anti ge maanyi ga Katonda okulokola bonna abakkiriza: Omuyudaaya y'asooka, n'Omugereeki n'addako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Enjiri tenkwasa nsonyi: kubanga ge maanyi ga Katonda agalokola buli muntu akkiriza, okusooka eri Omuyudaaya n’eri Omunnamawanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Enjiri tenkwasa nsonyi; kubanga ge maanyi ga Katonda agalokola buli akkiriza, okusookera ku Muyudaaya era n'Omuyonaani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amawulire Amalungi tegankwasa nsonyi, kubanga ge maanyi ga Katonda agalokola bonna abakkiriza, ng'Abayudaaya be basooka, ne kuddako ab'amawanga amalala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga enjiri tenkwasa nsonyi: kubanga ge maanyi ga Katonda olw’okulokola eri buli akkiriza okusookera Muyudaaya era n'eri Omuyonaani.