Romans 1:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga mu yo obutuukirivu bwa Katonda mwe bwolekerwa mu kukkiriza okutwala mu kukkiriza; nga bwe kyawandiikibwa nti: “Omutuukirivu aliba mulamu olw'okukkiriza.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga mu yo obutuukirivu bwa Katonda bubikkulibwa. Obutuukirivu obwo butuweebwa olw’okukkiriza, olw’okukkiriza kwokka, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Abatuukirivu banaabeeranga balamu lwa kukkiriza.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga mu Njiri Obutuukirivu bwa Katonda bubikkulibwa obuva mu kukkiriza okutuuka mu kukkiriza; nga bwe kyawandiikibwa nti, “Naye omutuukirivu anaabanga mulamu lwa kukkiriza.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu Mawulire Amalungi, obutuukirivu obuva eri Katonda mwe bulabikira. Obutuukirivu obwo Katonda abutuwa lwa kukkiriza, era bweyongerera mu kukkiriza, nga bwe kyawandiikibwa nti: “Omutuukirivu anaabeeranga mulamu lwa kukkiriza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mu yo obutuukirivu bwa Katonda bubikkulibwa obuva mu kukkiriza okutuusa mu kukkiriza: nga bwe kyawandiikibwa nti Naye omutuukirivu anaabanga mulamu lwa kukkiriza.