Romans 1:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti obusungu bwa Katonda bwayolekebwa okuva mu ggulu ku bikolwa by'abantu byonna eby'obukafiiri n'obutali butuukirivu nga basibira amazima ga Katonda mu butali buutuukirivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga obusungu bwa Katonda bubikkulibbwa okuva mu ggulu ku abo abatatya Katonda bonna n’abakaafiiri bonna ku bye bakola okuziyiza amazima okuvaayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga obusungu bwa Katonda bubikkulibwa okuva mu ggulu ku butatya Katonda bwonna, n'obutaba na butuukirivu bwonna obw'abantu abaziyiza amazima mu butaba na butuukirivu;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda ng'asinziira mu ggulu, alaga bw'asunguwalira abantu bonna abatamussaamu kitiibwa era ababi, abaziyiza amazima okumanyibwa olw'empisa zaabwe embi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga obusungu bwa Katonda bubikkulibwa okuva mu ggulu ku butatya Katonda bwonna n'obutaba na butuukirivu obw'abantu abaziyiza amazima mu butaba na butuukirivu;