Romans 1:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga ekisoboka okumanyika ku Katonda kyaboolekebwa; anti Katonda yakibooleka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ebisoboka okumanyibwa ku Katonda bibabikkuliddwa, kubanga Katonda abibalaze byonna mu bujjuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga ebiyinza okumanyika ebya Katonda bimanyika birabika gyebali; kubanga Katonda yabibalaga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebisoboka okumanyibwa ku Katonda, babiraba bulungi, kubanga Katonda yabibalaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga ebya Katonda ebimanyika birabika eri bo: kubanga Katonda yabibalabisa.