Romans 1:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okuviira ddala ensi lwe yatondebwa, enfaanana ye eterabika: bwe buyinza bwe obutaggwaawo n'obwakatonda bwe, baabitegeerera bulungi mu ebyo ebyakolebwa; awo nno tebalina buwampanyizo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga okuviira ddala ku kutondebwa kw’ensi, ebintu bye ebitalabika, bwe buyinza bwe obutaggwaawo n’obwa Katonda bwe, bitegeerwa ne birabikira ddala mu by’obutonde bwe, abantu balyoke baleme kubaako na kya kwewolereza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga okuviira ddala ku kutonda ensi, embeera ye eterabika, kwe kugamba obuyinza bwe obutaggwaawo n'obwakatonda bwe; birabikira ddala bulungi, nga bitegeererwa mu ebyo bye yatonda, bwe batyo babeere nga tebalina kya kuwoza;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okuviira ddala ku kutondebwa kw'ensi, embeera ye eterabika, kwe kugamba obuyinza bwe obutaggwaawo era n'obwakatonda bwe, birabikira ddala bulungi, nga bitegeererwa mu ebyo bye yatonda. N'olwekyo tebalina kyakwewolereza,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ebibye ebitalabika okuva ku kutonda ensi birabikira ddala nga bitegeererwa ku bitonde, obuyinza bwe obutaggwaawo n'obwakatonda bwe; babeere nga tebalina kya kuwoza: