Romans 1:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga Katonda bwe baamumanya, tebaamussaamu kitiibwa nga Katonda, era tebaamwebaza, wabula badda mu kulowooza bitagasa, n'omutima gwabwe ogutategeera ne gujjako ekifu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga newaakubadde nga Katonda bamumanyi, tebaamugulumiza nga Katonda wadde okumwebazanga, naye ne bagobereranga ebitaliimu mu mpaka zaabwe, omutima gwabwe omusirusiru ne gujjuzibwa ekizikiza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga newakubadde nga Katonda baamumanya, naye tebamugulumizanga nga Katonda newakubadde okumwebazanga, wabula ne bagobereranga ebitaliimu mu mpaka zaabwe, omutima gwabwe omusirusiru ne gujjuzibwa ekizikiza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga newaakubadde nga Katonda baamumanya, kyokka tebaamussaamu kitiibwa nga Katonda, wadde okumwebaza, wabula ebirowoozo byabwe byadda mu bitagasa, emitima gyabwe emisirusiru ne gijjuzibwa ekizikiza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga, bwe baamanya Katonda, ne batamugulumizanga nga Katonda newakubadde okumwebazanga, naye ne bagobereranga ebitaliimu mu mpaka zaabwe, omutima gwabwe omusirusiru ne guzikirizibwa.