Romans 1:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda kyeyava abaawaayo eri amaddu g'emitima gyabwe ne mu buseegu, ne mu kujaajaamya bennyini emibiri gyabwe mu bokka na bokka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda kyeyava abaleka, emitima gyabwe ne girulunkanira eby’obugwagwa ne bawemula emibiri gyabwe bokka na bokka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda kyeyava abawaayo eri obugwagwa mu kwegomba kw'emitima gyabwe, okwonoonanga ekitiibwa ky'emibiri gyabwe bokka na bokka,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda kyeyava abaleka, emitima gyabwe ne girulunkanira eby'ensonyi, ne bawemula emibiri gyabwe bokka na bokka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda kyeyava abawaayo eri obugwagwa mu kwegomba kw'emitima gyabwe, okwonoonanga ekitiibwa ky'emibiri gyabwe bokka na bokka: