Romans 1:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'okubeera ekyo Katonda kyeyava abawaayo mu kwegomba okusonyiwaza: anti abakazi baabwe enkozesa y'emibiri ey'obutonde baagiwanyisaamu n'eyo ekontana n'obutonde;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda kyeyava abaleka ne beeyongera mu kwegomba kwabwe okw’obuwemu. Abakazi baabwe baawanyisa enkolagana yaabwe ey’obuzaaliranwa n’abasajja, ne bakola ebitali bya buzaaliranwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda kyeyava abawaayo eri okukwatibwa okw'ensonyi; kubanga abakazi baabwe baawaanyisa ekikolwa kyabwe eky'obuzaaliranwa ne bakifuula ekitali kya buzaaliranwa,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda kyeyava abaleka ne bafugibwa okwegomba kwabwe okubi: abakazi baabwe ne bagaana ebyo emibiri gyabwe bye gyatonderwa, ne bagikozesanga ebyo bye gitaatonderwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda kyeyava abawaayo eri okukwatibwa okw'ensonyi: kubanga abakazi baabwe baawaanyisa ekikolwa kyabwe eky'obuzaaliranwa ne bakifuula ekitali kya buzaaliranwa: