Romans 1:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'abasajja nabo baava ku nkozesa ey'emibiri ey'obutonde n'abakazi ne babugujja n'okukwatirwagana amaddu bokka na bokka, abasajja nga bakola eby'ensonyi ne basajja bannaabwe, ne bafuna mu bo bennyini empeera egya mu nsobi yaabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasajja nabo baalekayo okwegatta ne bakazi baabwe mu ngeri ey’obuzaaliranwa, ne bajjuzibwa obukaba ne beegatta ne basajja bannaabwe. N’ekyava mu bikolwa ebyo eby’obugwagwa, kwe kusasulibwa empeera esaanira okwonoona kwabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era n'abasajja bwe batyo, bwe baaleka ekikolwa eky'omukazi eky'obuzaaliranwa, ne baakanga mu kwegomba kwabwe bokka na bokka, abasajja n'abasajja nga bakolagananga ebitasaana, era bwe batyo ne beereetera ekibonerezo ekigwanira okwonoona kwabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'abasajja ne bakolanga bwe batyo: ne balekayo okumanyanga abakazi, ne babugujjanga okwegomba basajja bannaabwe, era ne bakolanga nabo eby'ensonyi, bwe batyo ne beereetera ekibonerezo ekigwanira okwonoona kwabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era n'abasajja bwe batyo, bwe baaleka ekikolwa eky'omukazi eky'obuzaaliranwa, ne baakanga mu kwegomba kwabwe bokka na bokka, abasajja n'abasajja nga bakolagananga ebitasaana, era nga baweebwanga mu bo bokka empeera eyo eyasaanira okwonoona kwabwe.