Romans 1:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abo nandibadde ekiragiro kya Katonda bakimanyi nti abeeyisa bwe batyo basaanira kufa, tebakoma ku kya kubikola kyokka, naye bakkirizaganya n'abo ababikola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Newaakubadde nga bamanyi nga Katonda yagamba nti abantu abakola ebintu ng’ebyo balizikirizibwa, tebakoma ku kubikola kyokka, naye basiima n’abo ababikola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era newakubadde bamanyi nga Katonda asala omusango, era nti abakola ebyo basaanidde kufa, tebabikola bukozi, era naye basiima ababikola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Newaakubadde bamanyi nga Katonda asala omusango nti abakola ebyo basaanidde kufa, naye babikola. Ate tebakoma ku kubikola kwokka, naye basiima n'abo ababikola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abamanya omusango gwa Katonda, nti abakola ebyo basaanidde kufa, tebabikola bukozi, era naye basiima ababikola.