Romans 1:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ate eyabalibwa nti Mwana wa Katonda mu maanyi ga Mwoyo ow'obutuukirivu ageeragira mu kuzuukira kwe mu bafu, Yezu Kristu Mukama waffe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
eyakakasibwa okuba Omwana wa Katonda mu maanyi aga Mwoyo Mutukuvu olw’okuzuukira kw’abafu, ye Yesu Kristo Mukama waffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
eyalagibwa okuba Omwana wa Katonda mu maanyi, ne mu mwoyo gw'obutukuvu, n'olw'okuzuukira kwe mu bafu; Yesu Kristo Mukama waffe,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka olw'obuyinza bwe, obusibuka mu butukuvu bwe yalina mu mwoyo, era n'olw'okuzuukira kwe, yakakasibwa nti Mwana wa Katonda. Ye Yesu Kristo Mukama waffe,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
eyalagibwa okuba Omwana wa Katonda mu maanyi, mu mwoyo gw'obutukuvu, olw'okuzuukira kw'abafu, Yesu Kristo Mukama waffe,