Romans 1:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mwe twafunira omukisa gw'obutume, mu linnya lye tutuuse eri amawanga gonna obuwulize obuva mu kukkiriza;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu Yesu Kristo Mukama waffe, mwe twaweerwa ekisa, ne mpitibwa okuba omutume, amawanga gonna galyoke gamugondere mu kukkiriza ku lw’erinnya lye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
okuyita mu ye mwe twafunira ekisa n'obutume, tuleete obugonvu bw'okukkiriza olw'erinnya lye mu mawanga gonna,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
eyatukwatirwa ekisa ne tuba abatume, tutuuse amawanga gonna ku buwulize obuva mu kumukkiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
eyatuweesa ekisa n'obutume olw'okuwulira okuva mu kukkiriza mu mawanga gonna, olw'erinnya lye;