Romans 1:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Y'abo bonna abali e Roma, abaagalwa ba Katonda abaayitibwa mubeere abatuukirivu. Eneema ebeere nammwe n'emirembe okuva ewa Katonda Kitaffe n'Omukama Yezu Kristu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mpandikira abo bonna ababeera mu Ruumi, abaagalwa ba Katonda, abaayitibwa okuba abatukuvu. Ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Mukama waffe, bibeerenga nammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
eri bonna abali mu Ruumi, abaagalwa Katonda, abayitibwa okuba abatukuvu, ekisa kibe nammwe n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmwe mwenna abaagalwa ba Katonda abali e Rooma, era abaayitibwa okuba abantu be, Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo babakwatirwe mmwe ekisa, era babawe emirembe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
eri bonna abali mu Ruumi, abaagalwa Katonda, abayitibwa okuba abatukuvu: ekisa kibe nammwe n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Mukama waffe Yesu Kristo.