Romans 1:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okusooka byonna, neebaza Katonda wange nga mpita mu Yezu Kristu ku lwammwe mwenna, kubanga okukkiriza kwammwe kulangirirwa mu nsi yonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okusooka neebaza nnyo Katonda wange ku lwammwe mwenna, ku bwa Yesu Kristo, olw’okukkiriza kwammwe okunywevu okwogerwako mu nsi yonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okusooka, nneebaza Katonda wange ku bwa Yesu Kristo ku lwammwe mwenna, kubanga okukkiriza kwammwe kwogerwako mu nsi zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okusooka, neebaza Katonda wange nga mpita mu Yesu Kristo, ku lwammwe mwenna, kubanga okukkiriza kwammwe kwogerwako mu nsi yonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okusooka, nneebaza Katonda wange ku bwa Yesu Kristo ku lwammwe mwenna, kubanga okukkiriza kwammwe kubuulirwa mu nsi zonna.