Romans 1:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Katonda gwe mpeereza mu mwoyo gwange, mu Vangili y'Omwana we, ye mujulirwa wange nti mbajjukira buli kadde bulijjo
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda gwe mpeereza n’omutima gwange gwonna nga mbulira Enjiri ey’Omwana we, ye mujulirwa wange, nga bwe mbasabira bulijjo,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Katonda ye mujulirwa, gw'empeereza mu mwoyo gwange, mu njiri y'Omwana we, bw'entyo buli kiseera mboogerako bulijjo mu ssaala zange,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda gwe mpeereza n'omutima gwange gwonna, nga ntegeeza abantu Amawulire Amalungi ag'Omwana we, ye alaba bwe mbajjukira bulijjo mu ssaala zange,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Katonda ye mujulirwa wange, gwe mpeerereza mu mwoyo gwange mu njiri y'Omwana we, bwe njogera ku mmwe obutamala,