Romans 10:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tewali nno njawulo, oba Muyudaaya oba Mugereeki, anti ng'Omukama wa bonna ye omu, agabira ebingi bonna abamukoowoola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tewali njawulo wakati wa Muyudaaya na Muyonaani, kubanga Mukama waabwe y’omu era ayanukula abo bonna abamukoowoola.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga tewali njawulo ya Muyudaaya na Muyonaani; Mukama waabwe bonna ye omu, era awa obugagga eri abo bonna abamukaabirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
tekisosola Muyudaaya na wa ggwanga ddala. Bonna Mukama waabwe ye omu, agaggawaza bonna abamukoowoola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga tewali njawulo ya Muyudaaya na Muyonaani: kubanga omu ye Mukama waabwe bonna, ye mugagga eri abo bonna abamukaabirira: