Romans 10:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye abantu balimukoowoola batya gwe batakkiriza, ate balimukkiriza batya gwe batawulirangako? Baliwulira batya awatali ayigiriza?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale balikoowoola batya oyo gwe batakkiririzaamu? Era balikkiriza batya oyo gwe batawulirangako? Era baliwulira batya awatali abuulira?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye balikoowoola batya gwe batannakkiriza? Era balikkiriza batya gwe batannawulirako? Era baliwulira batya awatali abuulira?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye baliyinza batya okukoowoola gwe batannakkiriza? Era baliyinza batya okukkiriza gwe batawulirangako? Era baliyinza batya okumuwulirako, nga tewali abategeeza?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale balikaabirira batya gwe batannakkiriza? era balikkiriza batya gwe batannawulirako? era baliwulira batya awatali abuulira?