Romans 10:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka si bonna nti baagondera Evangili; anti Yisaaya agamba nti: “Ayi Mukama, ani yakkiriza bye yawulira okuva gye tuli?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye si bonna abaagondera Enjiri. Isaaya agamba nti, “Mukama, waliwo akkirizza obubaka bwaffe?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bonna tebaagondera Njiri. Kubanga Isaaya ayogera nti, “Mukama, ani eyakkiriza ekigambo kyaffe?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye si bonna abakkiriza Amawulire Amalungi. Yisaaya agamba nti: “Mukama, ani yakkiriza bye twayogera?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye tebaagondera njiri bonna. Kubanga Isaaya ayogera nti Mukama, ani eyakkiriza ekigambo kyaffe?