Romans 10:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye mbuuza, tebawuliranga? Okuwulira baawulira; manyanga: “Eddoboozi lyabwe lyatuuka mu nsi yonna, ebigambo byabwe ku nkingi z'ensi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mulowooza Abayisirayiri tebaawulira? Weewaawo baawulira. Ebyawandiikibwa bigamba nti, “Eddoboozi lyabwe lyabuna mu nsi zonna, n’ebigambo byabwe byatuuka ku nkomerero z’ensi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mbuuza, Tebawuliranga? Weewaawo, ddala, baawulira Kubanga, “Eddoboozi lyabwe lyabuna mu nsi zonna, N'ebigambo byabwe okutuuka ku nkomerero z'ensi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ka mbuuze: tebabiwuliranga? Ddala baabiwulira, kubanga ekyawandiikibwa kigamba nti: “Eddoboozi lyabwe lyabuna mu nsi zonna, n'ebigambo byabwe byatuuka ensi gy'ekoma.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye njogera nti Tebawuliranga? Weewaawo, ddala, Eddoboozi lyabyo lyabuna mu nsi zonna, N'ebigambo byabyo okutuuka ku nkomerero z'ensi.