Romans 10:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era mbuuza, Yisirayeli teyamanya? Musa ye yasooka n'agamba nti: “Nzija kubakwasisa obuggya ku bantu abatali ggwanga; mbanyiize n'eggwanga essiru.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abayisirayiri baabitegeera oba tebaabitegeera? Bw’ati Musa bw’addamu ekibuuzo ekyo: “Ndibaleetera okukwatirwa obuggya abatali ggwanga, ne mbasunguwaza olw’eggwanga eritalina kutegeera.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nate mbuuza, Isiraeri tategeeranga? Musa ye yasooka okwogera nti, “Ndibakwasa obuggya eri abo abatali ggwanga,” Eri eggwanga eritalina magezi ndibasunguwaza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ka mbuuze: abantu ba Yisirayeli tebamanyi? Musa ye yasooka okugamba nti: “Ndibaleetera okukwatirwa obuggya abantu abatali ggwanga, mbaleetere mmwe okusunguwalira eggwanga eritalina magezi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye njogera nti Isiraeri tamanyanga? Musa ye yasooka okwogera nu Ndibakwasa obuggya eri abatali ba ggwanga, Eri eggwanga eritalina magezi ndibasunguwaza.