Romans 10:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nange mbajulira nti batakabanira Katonda naye tebamanyi kukikola bulungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga nkakasa nga balina obunyiikivu eri Katonda, naye si mu kutegeera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga mbategeeza nga balina okunyiikiririra Katonda, naye si mu kutegeera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nkakasa nga banyiikirira okussaamu Katonda ekitiibwa, naye okunyiikira kwabwe tekwesigamye ku kumanya okutuufu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mbategeeza nga balina okunyiikiririra Katonda, naye si mu kutegeera.