Romans 10:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne Yisaaya n'agamba n'obuvumu nti: “Nazuulibwa abo abatannoonyangako; nalabibwa abo abatanneebuuzanga.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne Isaaya yali muvumu bwe yagamba nti, “Nazuulibwa abo abatannoonya, ne ndabika eri abo abatambuulirizaako.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Isaaya aguma nnyo n'ayogera nti, “Navumbulibwa abo abatannoonyanga,” Nneeraga eri abo abatambuulirizangako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne Yisaaya aguma n'agamba nti: “Nalabibwa abo abatannoonyanga. Nalabikira abo abatambuulirizanga.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Isaaya aguma nnyo n'ayogera nti Navumbulibwa abo abatannoonyanga, Nalagibwa eri abo abatambuulirizangako.