Romans 10:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'atuuka ku Yisirayeli n'agamba nti: “Namala olunaku lwonna emikono gyange nga njanjululizza eri abantu abatampuliriza, abampakanya.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye eri Isirayiri agamba nti, “Olunaku lwonna nalumala nga ngolodde emikono gyange eri eggwanga ekkakanyavu era abantu abeewaggula.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye eri Isiraeri ayogera nti, “Obudde okuziba nnagololera emikono gyange abantu abajeemu era abatawulira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyokka eri Yisirayeli agamba nti: “Olunaku lwonna nalumala nga ngololedde emikono gyange abantu abatawulira era abajeemu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye eri Isiraeri ayogera nti Obudde okuziba nagololera emikono gyange abantu abatawulira era abagaana.