Romans 10:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga olw'obutamanya butuukirivu buva wa Katonda, baageza okutuuka ku butuukirivu mu ngeri eyaabwe ku bwabwe, tebaagondera butuukirivu bwa Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu butamanya butuukirivu bwa Katonda, bagezaako okwenoonyeza obutuukirivu, nga bagondera amateeka mu kifo ky’okugondera obutuukirivu bwa Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bwe batamanya butuukirivu bwa Katonda, era bwe bagezaako okutereeza obutuukirivu bwabwe bo bennyini, tebagondera butuukirivu bwa Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tebaamanya ngeri Katonda gy'aweeramu bantu butuukirivu, bwe batyo ne bagezaako okwezuulira ekkubo eryabwe ku bwabwe, ne batagoberera ngeri Katonda gy'aweeramu bantu butuukirivu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bwe batamanya butuukirivu bwa Katonda, era bwe bagezaako okutereeza obutuukirivu bwabwe bo bennyini, tebagondera butuukirivu bwa Katonda.