Romans 10:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa yawandiika nti omuntu atuukiriza obutuukirivu obuli mu Tteeka, oyo aliba abutuusizza, aliba mulamu olw'okubeera bwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musa awandiika ku butuukirivu obuva mu mateeka nti, “Omuntu alikola ebintu ebyo aliba mulamu mu byo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Musa awandiika nti, omuntu akola obutuukirivu obuva mu mateeka aliba mulamu mu bwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa yawandiika ebikwata ku butuukirivu obuva mu kuwulira Amateeka, nti alibugoberera bulimuweesa obulamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Musa awandiika obutuukirivu obuva mu mateeka nti abukola ye aliba omulamu mu bwo.