Romans 10:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sso obutuukirivu obuva mu kukkiriza bwo bugamba nti: “Togambanga mu mutima gwo nti: ‘Ani anaayambukayo mu ggulu?’ - kwe kugamba nti okunonayo Kristu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye okukkiriza okuva mu butuukirivu, kugamba nti, “Toyogeranga mu mutima gwo nti, ‘Ani alirinnya mu ggulu?’ (kwe kuggya Kristo mu ggulu)
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye obutuukirivu obuva mu kukkiriza bwogera bwe buti nti, Toyogeranga mu mutima gwo nti, “Ani alirinnya mu ggulu?” Okwo kwe kuleeta Kristo wansi;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye obutuukirivu obuva mu kukkiriza bugamba bwe buti nti: “Togambanga mu mutima gwo nti: Ani alirinnya mu ggulu?” - kwe kugamba, okuggyayo Kristo akke ku nsi
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye obutuukirivu obuva mu kukkiriza bwogera bwe buti nti Toyogeranga mu mutima gwo nti Ani alirinnya mu ggulu? (kwe kuleeta Kristo wansi;)