Romans 10:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekitabo ekitukuvu kigamba kitya? Kigamba nti: “Ekigambo kikuli kumpi, kiri mu kamwa ko ne mu mutima gwo” – kwe kugamba nti ekigambo ky'okukkiriza kye tuyigiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo bonna abalina okukkiriza mu Kristo bagamba nti, “Ekigambo kiri kumpi naawe, kiri mu kamwa ko era kiri mu mutima gwo,” kye kigambo eky’okukkiriza kye tubuulira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bwogera butya? Nti, Ekigambo kiri kumpi naawe, mu kamwa ko, ne mu mutima gwo, kye kigambo eky'okukkiriza kye tubuulira;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale obutuukirivu obwo bugamba butya? Bugamba nti: “Ekigambo kya Katonda kiri kumpi naawe; kiri mu kamwa ko, ne mu mutima gwo” - kwe kugamba, kye kigambo kye tutegeeza abantu, ekifa ku kukkiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bwogera butya? Nti, Ekigambo kiri kumpi naawe, mu kamwako, ne mu mutima gwo: kye kigambo eky'okukkiriza kye tubuulira: