Romans 11:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno mbuuza, Katonda yayabulira abantu be? N'akatono! Nze nzennyini ndi Muyisirayeli, muzzukulu wa Yiburayimu, ow'omu kika kya Benyamiini.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale ka mbuuze: Katonda yeegoberako ddala abantu be? Kikafuuwe. Kubanga nange ndi Muyisirayiri, era muzzukulu wa Ibulayimu, ow’omu kika kya Benyamini.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale mbuuza, Katonda yeegaana abantu be? Nedda! n'akatono. Nange kennyini ndi Muisiraeri, wa mu zzadde lya Ibulayimu, wa mu kika kya Benyamini.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale ka mbuuze: Katonda yeegoberako ddala abantu be? Nedda si bwe kiri. Nange ndi Muyisirayeli, muzzukulu wa Aburahamu, era ndi wa mu kika kya Benyamiini.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye eri Isiraeri ayogera nti Obudde okuziba nagololera emikono gyange abantu abatawulira era abagaana.