Romans 11:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba okusobya kwagaggawaza ensi, era bo okulemwa nga kyagaggawaza ab'amawanga, obugagga bulyenkana wa Yisirayeli yenna ng'akkiriza?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale obanga okwonoona kwabwe kutegeeza bugagga eri ensi, n’okulemwa kwabwe nga kutegeeza bugagga eri Abaamawanga, okuganyulwa kwabwe tekulisingawo!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye oba ng'okwonoona kwabwe kutegeeza bugagga bw'ansi, n'okulemwa kwabwe kutegeeza bugagga eri ab'amawanga; okutuukirira kwabwe tekulisinga nnyo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye oba nga okwonoona kwabwe kwaweesa ensi emikisa mingi, kale bonna bwe balidda eri Katonda emikisa tegirisingawo obungi?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye oba ng'okwonoona kwabwe bwe bugagga bw'ensi, n'okuweebuuka kwabwe bwe bugagga bw'ab'amawanga; okutuukirira kwabwe tekusinga nnyo?