Romans 11:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
nga njagala mu b'olulyo lwange nsiikuulemu obuggya, mbeeko abamu mu bo be ndokola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
singa kisoboka nkwase baganda bange obuggya abamu ku bo basobole okulokolebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
ndyoke nkwase Bayudaaya bannange obuggya, bwentyo ndokole abamu mu bo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
nga ngezaako okukwasisa ab'eggwanga lyange obuggya, ndyoke ndokole abamu ku bo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bwe ndiraba ekigambo kyonna kye ndikwasisa obuggya ab'omubiri gwange, ne ndokola abamu mu bo.