Romans 11:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba okubasuula kyaleeta okutabagana kw'ensi, okubakkiriza kiritegeeza ki? Si kuzza bulamu ababadde abafu?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga obanga okugobebwa kwabwe kwe kutabaganya ensi, okusembezebwa kwabwe kulitegeeza ki, bwe kutaliwa bafu bulamu?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kuba oba ng'okuganibwa kwabwe kutegeeza kutabaganya ensi, okusembezebwa kwabwe kutegeeza ki, okuggyako obulamu okuva mu bafu?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baagobebwa, ensi yatabagana ne Katonda. Kale bwe balikomezebwawo, kiriba kitya? Buliba bulamu obuliggyawo okufa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kuba oba ng'okugobebwa kwabwe kwe kutabaganya ensi, okusembezebwa kwabwe kiki, wabula obulamu mu bafu?