Romans 11:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
leka nno kwetendera ku matabi; bw'oba weetenda jjukira nti si ggwe owaniridde ekikolo, ekikolo kye kikuwaniridde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
teweenyumiririzanga ku matabi ago; naye bwe weenyumirizanga, jjukira nga si gwe owaniridde ekikolo, naye ekikolo kye kikuwaniridde.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
teweenyumiririzanga ku matabi ago. Bw'oba weenyumiriza, jjukira nti si ggwe owanirira ekikolo, naye ekikolo kye kiwanirira ggwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
leka kwewaana nti amatabi ago ogasinga. Bwe weewaana, jjukira nti si ggwe owaniridde ekikolo, wabula ekikolo kye kikuwaniridde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
teweenyumiririzanga ku matabi: naye bwe weenyumirizanga, si ggwe weetisse ekikolo, naye ekikolo kye kyetisse ggwe.