Romans 11:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda tasuuliriranga bantu be be yamanya okuva edda. Temumanyi Ebiwandiiko ebitukuvu kye byogera ku Eliya ng'alaajanira Katonda olw'Abayisirayeli, nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda tasuulanga bantu be, be yalonda okuva ku lubereberye. Oba temumanyi ekyawandiikibwa ekyogera ku Eriya bwe yeegayirira Katonda nga yeemulugunya olwa Isirayiri?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda tagaananga bantu be be yamanya edda. Oba temumanyi ebyawandiikibwa ku Eriya bwe byogera, ku ngeri gye yasaba Katonda ku Baisiraeri?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda abantu be, be yamanya edda, teyabeegoberako ddala. Temumanyi ekyawandiikibwa kye kigamba ku Eliya, bwe yasaba Katonda ng'ayogera ku Bayisirayeli? Yagamba nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda teyagoba bantu be, be yamanya edda. Oba temumanyi ebya Eriya ebyawandiikibwa bwe byogera? bwe yasaba Katonda ng'ayogera ku Baisiraeri nti