Romans 11:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kituufu. Gaawawaagulwako olw'obutakkiriza; ggwe wooli lwa kubeera kukkiriza. Awo nno leka kwetenda, tya buti.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ky’oyogedde kiba kituufu. Weewaawo gaawogolwako lwa butakkiriza, kyokka ggwe onywedde lwa kukkiriza. Teweenyumirizanga, naye otyanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Weewaawo; gaawogolwako lwa butakkiriza, naawe onywedde lwa kukkiriza. Teweegulumizanga, naye tyanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Weewaawo, gaawogolwako lwa butakkiriza bwago, naye ggwe ekikuyimirizzaawo kwe kukkiriza. N'olwekyo teweewaana, wabula tya weerinde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Weewaawo; gaawogolwa lwa butakkiriza, naawe onywedde lwa kukkiriza. Teweegulumizanga, naye tyanga: