Romans 11:22 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mutegeere nno ekisa kya Katonda ate n'obukambwe bwe. Bukambwe ku bali abaagwa, naye ku mmwe kisa kya Katonda singa musigala mu kisa kye, oba si ekyo nammwe mulitemwako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale mufumiitirize ku kisa n’obukambwe bwa Katonda. Aba mukambwe eri abo abaagwa, naye n’aba wa kisa eri ggwe, bwe weeyongera okunywerera mu kisa kye, kubanga naawe bw’otonywere oliwogolwako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale laba obulungi n'obukambwe bwa Katonda, eri abaagwa, bukambwe; naye eri ggwe bulungi bwa Katonda, bw'onoobeereranga mu bulungi bwe, naye bw'otoobeererenga mu bwo, naawe oliwogolwako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale manya ekisa n'obukambwe bwa Katonda. Akambuwalira abo abagudde n'akwatirwa ggwe ekisa, kasita onywerera ku kisa kye. Naye bw'otolikinywererako, naawe oliwogolebwako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale laba obulungi n'obukambwe bwa Katonda: eri abaagwa, bukambwe; naye eri ggwe bulungi bwa Katonda, bw'onoobeereranga mu bulungi bwe: bw'otoobeererenga, naawe oliwogolwa.