Romans 11:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Na bali nabo bwe bataligugubira mu butakkiriza bwabwe, baliwaayirwako, kubanga Katonda asobola bulungi okubawaayirako ogwokubiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era n’abo oluvannyuma bwe balikkiriza, balizzibwako ku nduli kubanga Katonda ayinza okubazaako kuli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era nabo, bwe bataaliremera mu butakkiriza bwabwe baliyungibwa ku kikolo, kubanga Katonda ayinza okubayungako nate.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era n'Abayudaaya bwe baliba tebalemedde mu butakkiriza bwabwe, balizzibwako ku muti, kubanga Katonda asobolera ddala okubazzaako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nabo, bwe bataabeererenga mu butakkiriza bwabwe balisimbwawo: kubanga Katonda ayinza okubasimbawo nate.