Romans 11:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba wasalibwa ku oliva ey'oku ttale kwe wakulira ne bakuwaayira ku oliva ennime, mu butonde ekitali kya bulijjo, nga kiriba kyangu amatabi agaakulirako okuddamu okuwaayirwa ku oliva yaago.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kuba obanga ggwe mu buzaaliranwa bwo gwe eyawogolwa ku muzeyituuni, wazzibwa ku muzeyituuni ogutali gwa buzaaliranwa bo, abo ab’obuzaaliranwa tebalisinga nnyo okuzzibwa ku muzeyituuni gwabwe bo?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kuba oba nga ggwe wawogolwa ku muzeyituuni ogwali ogw'omu nsiko mu buzaaliranwa, n'osimbibwa mu muzeyituuni omulungi obutagoberera buzaaliranwa, abo, ab'obuzaaliranwa, tebalisinga nnyo kusimbibwa mu muzeyituuni gwabwe bo?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kuba oba nga ggwe, mu nkula yo, eyali ettabi ly'omuti omuzayiti ogw'omu nsiko, wasalibwa n'osimbibwa ku muti omuzayiti ogw'omu nnimiro ogutali gwa nkula yo, amatabi agaazaalibwa ku muti ogwo tegaliba mangu nnyo okuzzibwa ku muti gwago?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kuba oba nga ggwe wawogolwa ku muzeyituuni ogwali ogw'omu nsiko mu buzaaliranwa, n'osimbibwa mu muzeyituuni omulungi obutagoberera buzaaliranwa, abo, ab'obuzaaliranwa; tebalisinga nnyo kusimbibwa mu muzeyituuni gwabwe bo?