Romans 11:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abooluganda, saagala mubeere awo nga temumanyi kyama kino, sikulwa nga mweyita abagezi: okuguguba kwajjira kitundu butundu eky'Abayisirayeli, okutuusa ab'amawanga bonna lwe bannaggwayo okuyingira,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ssaagala mmwe abooluganda obutamanya kyama kino nga mwelowooza okuba ab’amagezi, ng’abamu ku Bayisirayiri bwe baakakanyaza emitima gyabwe, okutuusa mmwe Abaamawanga, lwe muliyingira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ssaagala mmwe, ab'oluganda, obutamanya kyama kino, mulemenga okubeera ab'amagezi mu maaso gammwe mwekka, ng'obukakanyavu bwabeera ku Baisiraeri, okutuusa ab'amawanga lwe balituuka ku kutuukirira kwonna;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abooluganda, njagala mumanye ekyama kino, mulemenga okwewaanawaana. Abayisirayeli abamu baasigala bakakanyavu, okutuusa ab'amawanga amalala bonna lwe balimala okujja eri Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ssaagala mmwe, ab'oluganda, obutamanya kyama kino, mulemenga okubeera ab'amagezi mu maaso gammwe mwekka, ng'obukakanyavu bwabeera ku Baisiraeri mu kitundu, okutuusa okutuukirira kw'ab'amawanga lwe kulituuka;