Romans 11:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
olwo nno Abayisirayeli bonna ne balyoka balokoka, nga bwe kyawandiikibwa nti: “Omulokozi aliva mu Siyoni, aliggyawo mu Yakobo obukafiiri bwonna;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’oluvannyuma Isirayiri yenna alirokolebwa, ng’Ekyawandiikibwa bwe kigamba nti, “Omulokozi aliva mu Sayuuni, era aliggyawo obutatya Katonda mu bazzukulu ba Yakobo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era bwe kityo Abaisiraeri bonna balirokoka, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Omununuzi aliva mu Sayuuni; Aliggyawo obutatya Katonda mu Yakobo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo n'Abayisirayeli bonna balirokolebwa, nga bwe kyawandiikibwa nti: “Omulokozi alisibuka mu Siyooni, aliggya bazzukulu ba Yakobo mu byonoono byabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era bwe kityo Abaisiraeri bonna balirokoka: nga bwe kyawandiikibwa nti Muliva mu Sayuuni Awonya; Aliggyawo obutatya Katonda mu Yakobo: